2 Chronicles 7:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n'Abaleevi nabo bwe batyo, nga bakutte ebivuga by'Omukama kabaka Dawudi bye yali akoze okugulumiza Omukama buli Dawudi lwe yaweererezanga ettendo ku bivuga ebyo nti: “kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.” Mu maaso gaabwe waali wayimiriddewo bakabona nga bafuuwa amakondeere; ne Yisirayeli yenna yali ayimiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n’Abaleevi nabo mu bifo byabwe nga bakutte ebivuga bya Mukama, kabaka Dawudi bye yali akoze olw’okutenderezanga Mukama, buli lwe yeebazanga Mukama ng’agamba nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Ku luuyi olwaddirira Abaleevi, bakabona ne bafuuwa amakondeere, Isirayiri yenna n’ayimirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n'Abaleevi nabo ne bayimirira nga babatunuulidde, nga bakutte ebivuga Dawudi kabaka bye yakola okutenderezanga Mukama, ne bayimba oluyimba lwa Dawudi olw'okutendereza Mukama nga bagamba nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Bakabona ne bafuuwa amakkondeere nga Abaisiraeri bonna bayimiridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe. N'Abaleevi ne bayimirira nga babatunuulidde, nga balina ebivuga Dawudi bye yakola okutendereza Mukama, ne babikozesa mu luyimba Dawudi lwe yabayigiriza, olw'okwebaza Mukama, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna. Bakabona ne bafuuwa amakondeere nga n'Abayisirayeli bonna bayimiridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona ne bayimirira ng'emirimu gyabwe bwe gyali; era n'Abaleevi nga balina ebintu ebivuga ebya Mukama, Dawudi kabaka bye yakola okwebaza Mukama, kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna, Dawudi bwe yatenderezanga olw'okuweereza kwabwe: bakabona ne bafuuwa amakondeere mu maaso gaabwe; Isiraeri yenna ne bayimirira.