2 Chronicles 7:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Solomoni n'amala ennaku musanvu ng'akuza embaga enkulu, nga ne Yisirayeli yenna ali naye, ekibiina ekinene ennyo omwali abaava ku Lebo-Kamati okutuuka ku Kiwonvu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mu kiseera kyekimu Sulemaani n’akuuma embaga eyo okumala ennaku musanvu, ne Isirayiri yenna wamu naye, n’ekibiina ekinene ennyo okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kiseera ekyo, Sulemaani n'Abaisraeri bonna ne bakwata embaga ey'ennaku musanvu, ekibiina kyali ekinene nnyo, abantu baava awayingirirwa e Kamasi okutuukira ddala ku kagga ak'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, Solomooni ng'ali wamu n'Abayisirayeli bonna, n'akola embaga, gye baamalako ennaku musanvu. Embaga eyo yaliko abantu bangi nnyo, abaava n'ewala ennyo, ng'eri awali omwagaanya oguyingirirwamu ogw'e Hamati, n'eri ku Kagga ak'ensalo ne Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'afumba embaga mu biro ebyo ey'ennaku musanvu, ne Isiraeri yenna wamu naye, ekibiina ekinene ennyo, okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak'e Misiri.