2 Chronicles 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwomunaana baakola olukuŋŋaana olw'ekitiibwa, kubanga baali bamaze ennaku omusanvu nga batukuza omwaliiro n'embaga enkulu ne bagikuliza ennaku endala musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omunaana ne bakuba olukuŋŋaana, kubanga baali bajjagulizza okuwongebwa kw’ekyoto ennaku musanvu, n’embaga ennaku endala musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olw'omunaana ne baba n'okukuŋŋaana okutukuvu: kubanga baali bamaze okukwata ennaku musanvu ez'okuwaayo ekyoto, n'okukwata ennaku endala musanvu ez'embaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baamala ennaku musanvu ez'okuwaayo alutaari eri Mukama, n'ennaku endala musanvu ez'embaga. Ku lunaku olw'omunaana ne baba n'olukuŋŋaana olukulu olwa bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'omunaana ne bakuŋŋaanya okukuŋŋaana okutukuvu: kubanga embaga ey'okuwonga ekyoto baagikwatira ennaku musanvu, n'embaga ennaku musanvu.