2 Chronicles 8:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lw'emyaka amakumi abiri, Solomoni mwe yazimbira Ekiggwa ky'Omukama n'olubiri lwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe wayitawo emyaka amakumi abiri, mu myaka Sulemaani gye yazimbiramu eyeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka emyaka abiri (20) bwe gyaggwako, Sulemaani mwe yazimbira ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, emyaka amakumi abiri Solomooni gye yamala ng'azimba Essinzizo n'olubiri lwe bwe gyaggwaako,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka emyaka amakumi abiri bwe gyayitawo Sulemaani mwe yazimbira ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye ye,