2 Chronicles 8:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni yaggya muwala wa Faraawo mu Kibuga kya Dawudi, n'amutwala mu lubiri lwe yali amuzimbidde; anti kabaka yagamba nti: “Mukazi wange tajja kusula mu nnyumba ya Dawudi Kabaka wa Yisirayeli, kubanga ebifo ebyo Ssanduuku y'Omukama w'eyingidde bitukuvu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani n’aggya muwala wa Falaawo mu kibuga kya Dawudi n’amutwala mu lubiri lwe yamuzimbira ng’agamba nti, “Mukyala wange tajja kubeera mu lubiri lwa Dawudi kabaka wa Isirayiri, kubanga ebifo essanduuko ya Mukama by’etuusemu bitukuvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani n'aggya mukazi we, muwala wa Falaawo, mu kibuga kya Dawudi, n'amuleeta mu nnyumba gye yamuzimbira, kubanga yagamba nti, “Mukazi wange tajja kubeera mu nnyumba ya Dawudi kabaka wa Isiraeri, kubanga ekifo kyonna ekyatuukibwamu essanduuko ya Mukama kitukuvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Solomooni n'aggya mukazi we muwala wa Kabaka w'e Misiri mu kibuga kya Dawudi, n'amuteeka mu nnyumba gye yamuzimbira, kubanga yagamba nti: “Mukazi wange tajja kubeera mu lubiri lwa Dawudi Kabaka wa Yisirayeli, kubanga ebifo ebyatuukibwamu Essanduuko ya Mukama bitukuvu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sulemaani n'ayambusa muwala wa Falaawo ng'amuggya mu kibuga kya Dawudi n'amuleeta mu nnyumba gye yamuzimbira: kubanga yayogera nti Mukazi wange tajja kubeera mu nnyumha ya Dawudi kabaka wa Isiraeri, kubanga ebifo bitukuvu essanduuko ya Mukama gye yatuuka.