2 Chronicles 8:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga agoberera amateeka aga bulijjo ku bitambiro ebyokye nga Musa bwe yalagira: eby'oku Sabbaato, ku mbaga z'Okuboneka kw'Omwezi, ne ku mbaga enkulu eziragiddwa emirundi esatu mu mwaka: Embaga y'Emigaati Egitazimbulukuse, Embaga ya Wiiki n'Embaga y'Ensiisira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe kyali kigwanirwa buli lunaku, okuwangayo ebiweebwayo ng’etteeka lya Musa bwe lyali, erikwata ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga essatu eza buli mwaka, era ze zino: embaga ey’emigaati egitazimbulukuswa, n’embaga eya ssabbiiti, n’embaga ey’ensiisira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yabiwangayo nga bwe kyetaagibwanga buli lunaku, ng'awaayo ng'Amateeka ga Musa bwe galagira okubiwaayo ku Ssabbiiti, ne mu kuboneka kwa buli mwezi, ne ku mbaga esatu ezaalagirwa buli mwaka, ku mbaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa, ku mbaga ey'Amakungula, ne ku mbaga ey'ensiisira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yabiwangayo nga bwe kyabanga kyetaagibwa buli lunaku, ng'Amateeka ga Musa bwe galagira okubiwaayo ku Sabbaato ne mu kuboneka kwa buli mwezi, ne ku mbaga essatu eza buli mwaka: ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, n'ey'Amakungula, n'ey'Ensiisira
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali, ng'awaayo ng'ekiragiro kya Musa bwe kyali ku ssabbiiti n'emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaalagirwa, emirundi esatu buli mwaka, ku mbaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ne ku mbaga eya ssabbiiti ne ku mbaga ey'ensiisira.