2 Chronicles 8:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'ekiragiro kya kitaawe Dawudi bwe kyali kigamba, yatondawo ebisanja bya bakabona era n'eby'Abaleevi ab'okukulembera mu mikolo egy'okutendereza era ab'okuyambanga ku bakabona okusinziira ku byetaago by'emirimu gya buli lunaku. Yalonda n'abaggazi mu bisanja byabwe ku lwa buli mulyango, anti bw'atyo Dawudi omuntu wa Katonda bwe yali alagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alonda ebibinja ebya bakabona olw’obuweereza bwabwe, n’Abaleevi olw’emirimu gyabwe egy’okutenderezanga mu nnyumba, ng’ekiragiro kya Dawudi kitaawe kye yayogera ne mu kuyambangako bakabona mu mirimu egya buli lunaku. Ate era n’alonda n’abaggazi mu bibinja byabwe olw’emiryango egy’enjawulo kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani nnakola nga Dawudi kitaawe bwe yalagira, n'ateekawo empalo za bakabona ez'okuweereza kwabwe, n'ez'Abaleevi ze bakolerangako omulimu gwabwe ogw'okuyimba, n'okuweereza nga bayamba bakabona, nga bwe kyabanga kyetaagibwa buli lunaku. N'ateekawo n'abakuumi b'Emiryango mu mpalo ku buli mulyango. Bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni yakola nga Dawudi kitaawe bwe yalagira, n'ateekawo empalo, bakabona ze bagoberera nga bakola omulimu gwabwe. N'ateekawo n'ez'Abaleevi ze bakolerako omulimu gwabwe ogw'okuyimba ennyimba, n'okuweereza nga bayamba ku bakabona, nga bwe kyabanga kyetaagibwa buli lunaku. N'ateekawo n'abakuuma emiryango mu mpalo ku buli mulyango. Kubanga bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yali alagidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agaba empalo za bakabona olw'okuweereza kwabwe ng'ekiragiro kya Dawudi kitaawe bwe kyali, n'awa Abaleevi ebyo bye baalagirwa, okutenderezanga n'okuweereza mu maaso ga bakabona, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali: era n'abaggazi ng'empalo zaabwe bwe zaali ku buli mulyango: kubanga bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.