2 Chronicles 8:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna kabaka bye yalagira ku bakabona n'Abaleevi ne ku nkuluze mpaawo kye baawunjukako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batava ku biragiro kabaka bye yali awadde bakabona, n’Abaleevi ku bikwatagana n’ensonga yonna, wadde ku bikwatagana n’ebyetterekero ly’ebintu eby’omuwendo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona n'Abaleevi tebaava ku kiragiro kya kabaka Dawudi ekikwata ku kintu kyonna oba ku bintu ebyaterekebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ssekabaka Dawudi bye yalagira bakabona n'Abaleevi ku bintu ebyaterekebwa, ne ku bintu ebirala, ne babituukiriza bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batava mu kiragiro kya kabaka kye yalagira bakabona n'Abaleevi olw'ekigambo kyonna oba olw'ebintu ebyaterekebwa.