2 Chronicles 8:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe gutyo omulimu gwa Solomoni ne guggwa, gwe yatandika lwe yasimba omusingi gw'Ekiggwa ky'Omukama okutuusa ku lunaku lwe kyaggyibwako engalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulimu gwa Sulemaani ne guggwa bulungi okuva ku lunaku omusingi ogwa yeekaalu ya Mukama lwe gwa simibwa okutuusa yeekaalu lwe yaggwa, era n’emalibwa bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Sulemaani n'amaliriza omulimu gwonna, okuviira ddala ku lunaku lwe baasima omusingi gw'Ennyumba ya Mukama, okutuusa lwe yaggwa. Bw'etyo ennyumba ya Mukama n'emalirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Solomooni n'amaliriza omulimu gwonna, okuviira ddala ku lunaku lwe baasima omusingi gw'Essinzizo, okutuusa lwe lyaggwa okuzimba. Bwe lityo Essinzizo ne limalirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omulimu gwonna ogwa Sulemaani ne gutegekerwa olunaku olw'okussaawo emisingi gy'ennyumba ya Mukama n'okutuusa lwe yaggwa. Bw'etyo ennyunba ya Mukama n'etuusibwa ddala.