2 Chronicles 8:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuramu n'atuma abaweereza be ne bamuleetera amaato nga gagobwa abalunnyanja abamanyi ennyanja. Bano ne bagenda wamu n'abaweereza ba Solomoni, ne balaga mu Ofiri ne baggyayo zaabu wa talenta ebikumi bina mu ataano, ne bamuleetera kabaka Solomoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kulamu n’amuweereza ebyombo, nga bigobebwa baduumizi be, abasajja abaali bamanyi ennyanja. Ne bagenda e Ofiri n’abaddu ba Sulemaani nga babeegasseko, ne baaleetera kabaka Sulemaani ettani za zaabu kkumi na musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kulamu n'amuweereza amaato n'abalunnyanja. Ne bagenda wamu n'abaweereza ba Sulemaani e Ofiri, ne baggyayo zaabu aweza talanta bina mu ataano (450), ne bamuleeta eri kabaka Sulemaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hiraamu n'amuweereza amaato n'abalunnyanja. Ne bagenda wamu n'abaweereza ba Solomooni mu nsi y'e Ofiri, ne baggyayo zaabu aweza talanta ebikumi bina mu ataano, ne bamuleeta eri Kabaka Solomooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kulamu n'amuweereza mu mikono gy'abaddu be ebyombo n'abaddu abaamanya ennyanja; ne bajja wamu n'abaddu ba Sulemaani e Ofiri, ne bakimayo zaabu talanta ebikumi bina mu ataano, ne bazireeta eri kabaka Sulemaani.