2 Chronicles 8:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne Baalati, ebibuga bye byonna eby'amawanika ga Solomoni, ebibuga by'ebigaali bye, ebibuga by'embalaasi ze, na buli kyonna kye yayagala okuzimba mu Yeruzaalemu ne mu Lebanoni ne wonna mu nsi gye yafuganga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ekya Baalasi n’ebibuga bye byonna eby’amaterekero, n’ebibuga byonna eby’amagaali ge, n’abavuga amagaali ge, ne kyonna kye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, mu Lebanooni ne mu nsi yonna gye yafuganga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'azimba ne Baalasi n'ebibuga byonna eby'okuterekangamu ebintu bye yalina, n'ebibuga byonna bye yakuumirangamu amagaali ge n'ebibuga ebyabeerangamu abasajja be abeebagala embalaasi, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, mu Lebanooni n'awalala wonna mu matwale ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'azimba n'ebibuga Baalati, n'ebibuga byonna bye yaterekangamu ebintu, n'ebibuga bye yakuumirangamu amagaali, n'ebibuga ebyabeerangamu basajja be abeebagala embalaasi. N'azimba n'ebintu n'ebirala byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemu, ne mu Lebanooni, n'awalala wonna mu matwale ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Baalasi n’ebibuga byonna eby'okuterekeramu Sulemaani bye yalina, n'ebibuga byonna eby'amagaali ge n'ebibuga eby'abasajja be abeebagala embalaasi, ne byonna Sulemaani bye yayagala okuzimba olw'okwesanyusa kwe mu Yerusaalemi ne mu, Lebanooni ne mu nsi yonna ey'amatwale ge.