2 Chronicles 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Solomoni teyafuula Bayisirayeli baddu be, wabula Abayisirayeli baabeeranga batabaazi mu ggye, bagabe be, baduumizi ba bigaali bye na beebagazi be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Sulemaani n’atafuula Bayisirayiri baddu be; bo baali baserikale be, n’abaduumizi b’eggye lye, n’abaduumizi ab’amagaali ge n’abeebagala embalaasi ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ku baana ba Isiraeri, Sulemaani teyafuulako baddu ba kukola mirimu gye, wabula baali basajja balwanyi mu ntalo, bakulu ba maggye, abakulira abavuzi b'amagaali ge, n'abasajja abeebagala embalaasi ze
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abayisirayeli bo, Solomooni teyabafuula baddu ba kukola mirimu gye, wabula ne baba balwanyi mu ntalo, n'abakulu mu magye, n'abakulira abavuzi b'amagaali ge, n'abeebagazi b'embalaasi ze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ku baana ba Isiraeri Sulemaani teyafuulangako baddu olw'omulimu gwe; naye ne baba basajja balwanyi era abakulu b'abaami be era abafuga amagaali ge n'abasajja be abeebagala embalaasi.