2 Chronicles 9:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnaabakyala ow'e Saba bwe yawulira ettutumu lya Solomoni, n'ajja e Yeruzaalemu okumugeza n'ebibuuzo ebizibu. Yajja n'entwala nnene nnyo: eŋŋamiya ezeetisse ebirungo, ne zaabu butitimbe, n'amayinja ag'omuwendo, n'ajja ewa Solomoni, n'amugamba byonna ebyamuli ku mutima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka omukazi w’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani n’ajja e Yerusaalemi okumugeza n’ebibuuzo ebikalubo, ng’awerekeddwako ekibinja ekinene omwali eŋŋamira ezaali zeetise ebyakaloosa, ne zaabu nnyingi nnyo n’amayinja ag’omuwendo omungi. Awo bwe yatuuka eri Sulemaani, n’anyumya naye ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani, n'ajja e Yerusaalemi amugeze, ng'amubuuza ebibuuzo ebizibu, yajja n'abaddu bangi nnyo, n'eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'ezaabu nnyingi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo omungi. Awo bwe yatuuka ewa Sulemaani, n'amubuuza ebyo byonna bye yalina ku mutima gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yawulira ettutumu lya Solomooni n'ajja e Yerusaalemu amugeze, ng'amubuuza ebibuuzo ebizibu. Yajja n'ekibiina ky'abaweereza be kinene nnyo, n'eŋŋamiya ezeetisse ebyakaloosa ne zaabu mungi nnyo n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Awo bwe yatuuka ewa Solomooni, n'amubuuza ebyo byonna bye yalina ku mutima gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka omukazi w'e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani, n'ajja okukema Sulemaani n’ebibuuzibwa ebizibu, e Yerusaalemi, ng'alina abaddu bangi nnyo n’eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa ne zaabu nnyingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi: awo bwe yajja eri Sulemaani, n'ateesa naye ebyo byonna ebyali mu mutima gwe.