2 Chronicles 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakozesa emiti egy'entoogo okukola amadaala g'Ekiggwa ky'Omukama n'olubiri lwa kabaka, era n'abajjamu ennanga n'entongooli eby'abayimbi. Emiti gy'entoogo egiri ng'egyo gyali tegirabwangako mu Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’akozesa emitoogo egyo okuzimba amaddaala aga yeekaalu ya Mukama n’ag’olubiri lwa kabaka, ate era n’akolamu n’ennanga n’entongooli z’abayimbi. Waali tewabangawo bifaanana ng’ebyo mu nsi ya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'akozesa embaawo ez'emitoogo okuzimba amadaala g'ennyumba ya Mukama, n'ennyumba ya kabaka, era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Waali tewalabikanga bintu biringa ebyo mu Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embaawo ezo kabaka n'azikozesa okuzimba amadaala g'omu Ssinzizo, n'ag'omu nnyumba ye. Era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Mu Buyudaaya baali tebalabanga mbaawo ziri ng'ezo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'akola n'emitoogo entindo ez'ennyumba za Mukama n'ennyumba ya kabaka, n'ennanga n'entongooli z'abayimbi: so tewaalabikanga edda mu nsi ya Yuda egifaanana bwe gityo.