2 Chronicles 9:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Solomoni n'awa nnaabakyala w'e Saba byonna bye yayagala ne bye yamusaba; yamuwa n'ebisinga ebyo nnaabakyala bye yamutonera. N'afunyamu n'adda mu nsi ye wamu n'abaweereza be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Sulemaani n’awa Kabaka omukazi w’e Seeba byonna bye yayagala, okusinga n’ebyo bye yali amuleetedde. N’oluvannyuma n’addayo mu nsi ye n’ekibinja kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, na buli kye yasaba kyonna, nga tobaliddeeko ebyo ye bye yamuwa olw'ebirabo naye bye yali amutonedde. Awo kabaka omukazi n'abaddu be ne baddayo mu nsi y'ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka Solomooni n'awa kabaka omukazi ow'e Seba byonna bye yayagala, na buli kye yasaba, nga tobaliddeeko bye yamuwa olw'ebyo kabaka omukazi bye yamuleetera. Awo kabaka omukazi n'abaweereza be ne baddayo mu nsi y'ewaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, buli kye yasaba kyonna, obutassaako ebyo bye yaleetera kabaka. Awo n'akyusa n'addayo mu nsi ye ye, ye n'abaddu be.