2 Chronicles 9:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zaabu eyaleeterwanga Solomoni buli mwaka ng'aweza obuzito bwa talenta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obuzito bwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwaweranga ettani amakumi abiri mu ttaano,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zaabu Sulemaani gwe yafunanga mu mwaka ogumu yawezanga obuzito talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666),
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zaabu Solomooni gwe yafunanga omwaka, yawezanga talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ezaabu eyajja eri Sulemaani mu mwaka ogumu obuzito bwayo bwali talanta za zaabu lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,