2 Chronicles 9:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'oggyeeko eyavanga mu basuubuzi n'eyo abasuubuzi gwe baaleetanga. Bakabaka b'omu Arabiya n'abaamasaza mu nsi nabo baaleeteranga Solomoni zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okwo nga tagasseeko ey’obusuulu eyaweebwangayo abasuubuzi n’abamaguzi. Ate era ne bakabaka ab’e Buwalabu ne bagavana ab’ensi bamuleeteranga zaabu n’effeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga tobaliddeeko oyo abasuubuzi n'empooza ku bitundibwa gwe baaleetanga. Bakabaka bonna ab'e Buwalabu n'abafuzi b'ebitundu bya Isiraeri, nabo ne baleeteranga Sulemaani zaabu n'effeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
awatali kubalirako oyo ow'omusolo ogusasulibwa abasuubuzi n'empooza ku bitundibwa. Ne bakabaka bonna ab'e Buwarabu n'abafuzi b'ebitundu mu nsi eyo, nabo baaleeteranga Solomooni zaabu ne ffeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obutassaako eyo abasuubuzi n'ab'obuguzi gye baaleetanga: ne bakabaka bonna ab'e Buwalabu n'abakulu b'ensi ne baleetera Sulemaani zaabu n'effeeza.