2 Chronicles 9:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era kabaka Solomoni yakola engabo ebikumi bibiri mu zaabu omukubeekube; beka lukaaga eza zaabu ze zaagenda ku ngabo emu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Sulemaani n’aweesa engabo ennene ebikumi bibiri okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ng’erimu kilo ssatu n’ekitundu eza zaabu omukubeekube.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Sulemaani n'aweesa engabo ennene bibiri (200) mu zaabu, nga buli emu ya zaabu aweza sekeri lukaaga (600).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni n'aweesesa engabo ennene ebikumi bibiri mu zaabu, nga buli emu ezitowa kilo nga musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabaka Sulemaani n'aweesa obugabo ebikumi bibiri ebya zaabu empeese: buli kagabo n'akawaako (sekeri) za zaabu lukaaga.