2 Chronicles 9:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola engabo entonotono ebikumi bisatu eza zaabu omukubeekube; beka ebikumi bisatu ze zaagenda ku ngabo emu. Kabaka yabissa mu Lubiri lw'Ekibira kya Lebanoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aweesa n’engabo entono ebikumi bisatu okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ng’erimu kilo emu ne desimoolo musanvu eza zaabu. Kabaka n’aziteeka mu lubiri lw’Ekibira kya Lebanooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'aweesa engabo entono bisatu (300) mu zaabu, nga buli ngabo ya zaabu wa sekeri bisatu (300). Kabaka zonna n'aziteeka kisenge ekiyitibwa, Ekibira kya Lebanooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aweesesa n'engabo entono ebikumi bisatu eza zaabu, nga buli emu ezitowa kilo nga ssatu. Zonna n'aziteeka mu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola engabo ebikumi bisatu ebya zaabu empeese; buli ngabo n'agiwaako sekeri ebikumi bisatu: kabaka n'azitereka mu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni.