2 Chronicles 9:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnamulondo yalina amadaala mukaaga; yali eyungiddwako akatebe k'ebigere aka zaabu; erudda n'erudda wa buli mukono gwayo ng'eriyo ebifaananyi by'empologoma; bbiri zaali ziyimiridde mu mbiriizi z'emikono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entebe ye ey’obwakabaka yaliko amaddaala mukaaga, n’akatebe kawumulizaako ebigere akaakolebwa mu zaabu, era yaliko n’emikono eruuyi n’eruuyi, n’ebibumbe by’empologoma ennume bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g’emikono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waaliwo amadaala mukaaga okutuuka ku ntebe, ekirinnyibwako ebigere kyali kya zaabu, era nga kisibiddwa ku yo. Entebe era yaliko awateekebwa emikono eruuyi n'eruuyi, era ku buli ludda lw'awateekebwa omukono, ku mabbali waaliwo ekifaananyi ky'empologoma eyimiridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo amadaala mukaaga okugituukako, n'ekirinnyibwako ebigere ekya zaabu, ekyali kisibiddwa ku yo. Era yaliko awateekebwa emikono eruuyi n'eruuyi. Era ku buli ludda lw'awateekebwa omukono, waaliwo ekifaananyi ky'empologoma eyimiridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Entebe yaliko amadaala mukaaga, era yaliko entebe ey'ebigere eya zaabu, era gaasibibwa n'entebe, era yaliko emikono eruuyi n'eruuyi awatuulibwa, n'empologoma bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g'emikono.