2 Chronicles 9:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'empologoma kkumi na bbiri zaali ziyimiridde ku madaala, mukaaga ku buli ludda. Teri bwakabaka bulala bwali bukoleddwa kintu kifaanana kiti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’empologoma kkumi na bbiri emmumbe zaali zisimbiddwa eruuyi n’eruuyi ku madaala omukaaga. Tewaali eyakolebwa ng’eyo mu bwakabaka obulala bwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebifaananyi by'empologoma eziyimiridde ebirala kkumi na bbiri, byali biteekeddwa eruuyi n'eruuyi ku buli nkomerero ya madaala ago omukaaga. Waali tewabangawo ntebe yonna ya kabaka efaanana ng'eno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo n'ebifaananyi ebirala eby'empologoma kkumi na bibiri eziyimiridde, emu emu ku nkomerero ya buli ddaala, erudda n'erudda w'amadaala ago omukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'empologoma kkumi na bbiri zaayimirira eruuyi n'eruuyi ku madaala omukaaga: tewali eyakolebwa mu bwakabaka bwonna okugifaanana.