2 Chronicles 9:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni n'amuddamu ebibuuzo bye byonna; tewaaliwo kyakaluubirira kabaka kumunnyonnyola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani n’addamu ebibuuzo bye byonna, ne wataba n’ekimu ekyamulema okumunnyonnyola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani n'amuddamu byonna bye yamubuuza: tewali kintu na kimu ekyakaluubirirwa Sulemaani okumunnyonnyola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni n'amuddamu byonna bye yamubuuza. Tewali kintu na kimu kyakaluubirira Solomooni okunnyonnyola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'amutegeeza byonna bye yamubuuza: tewali kintu ekyakwekebwa kabaka ky'ataamutegeeza.