2 Chronicles 9:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na byonna kabaka Solomoni mwe yanyweranga byalinga bya zaabu; ebikozesebwa byonna mu Lubiri lw'Ekibira kya Lebanoni byali bya zaabu omusengejje. Tewaali kikole mu ffeeza, kubanga mu budde bwa Solomoni teyabalibwanga ng'eky'omuwendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebinywerwamu byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, n’ebintu byonna ebyali mu lubiri lw’Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoseemu. Tewaali kyakolebwa mu ffeeza kubanga mu biro bya Sulemaani effeeza yabanga ya muwendo gwa wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoose. Mu biseera bya Sulemaani, ffeeza teyatwalibwanga nga ekintu eky'omuwendo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu byonna ebya Solomooni eby'okunyweramu byali bya zaabu. Era ebintu byonna eby'omu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoose. Mu biseera bya Solomooni, ffeeza teyayitibwanga kintu kya muwendo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu nnongoofu: ffeeza teyalowoozebwa nga kintu ku mirembe gya Sulemaani.