2 Chronicles 9:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Kabaka yalina empingu eyagendanga e Tarusisi ng'egobwa abaweereza ba Kuramu, buli myaka esatu yakomangawo ng'ereese zaabu, ffeeza, amasanga, enkobe n'amazike.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka yalina ebyombo ebyagendanga e Talusiisi n’abasajja ba Kulamu, era buli myaka esatu byaleetanga zaabu n’effeeza, n’amasanga, n’enkoba n’enkima okuva e Talusiisi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka yalina empingu y'amaato eyaagendanga e Talusiisi wamu n'abaddu ba Kulamu; empingu yakomangawo mulundi gumu buli myaka esatu ng'ereese zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne zimuzinge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka yalina empingu y'amaato agasobola ennyanja ennene. Empingu eyo yagendanga n'eya Hiraamu. Buli myaka esatu yakomangawo ng'ereese zaabu ne ffeeza, n'amasanga n'enkobe ne zimuzinge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kabaka yalina malikebu ezaagendanga e Talusiisi wamu n'abaddu ba Kulamu; malikebu ez'e Talusiisi zajjanga mulundi gumu buli myaka esatu nga zireeta zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne bamuzinge.