2 Chronicles 9:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabaka bonna ab'ensi baanoonyanga okulaba ku Solomoni, bawulire amagezi Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabaka bonna baagendanga gyali okumwebuuzaako, n’okuwulira amagezi Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabaka bonna ku nsi bajjanga okulaba Sulemaani, okuwulira amagezi ge Katonda ge yali amuwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabaka bonna ku nsi bajjanga okulaba Solomooni, okuwulira eby'amagezi Katonda ge yamuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabaka b'ensi bonna ne banoonya amaaso ga Sulemaani okuwulira amagezi ge Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.