2 Chronicles 9:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli mwaka, buli eyajjanga yamuleeteranga ebirabo: ebibya ebya ffeeza n'ebya zaabu, ebyambalo, ebyokulwanyisa, ebirungo, embalaasi n'ennyumbu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli mwaka, buli eyajjanga, yaleetanga ekirabo, ebimu byali bintu bya ffeeza ne zaabu, n’ebirala nga byambalo, n’ebirala nga byakulwanyisa, n’ebirala nga byakaloosa, n’embalaasi, n’ennyumbu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu eyajjanga gyali buli mwaka ng'amuleetera ekirabo: ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu, ebyambalo n'eby'okulwanyisa, n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli omu eyajjanga, ng'amuleetera amakula: ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu, ebyambalo n'ebyokulwanyisa, n'ebyakawoowo, embalaasi n'ennyumbu. Ebyo byabanga bya buli mwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baleeta buli muntu ekirabo kye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebyambalo n'ebyokulwanyisa n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu, ebyasalibwa ebya buli mwaka.