2 Chronicles 9:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyafaayo ebirala ku Solomoni, okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, byawandiikibwa mu kitabo ky'ebyafaayo ekya Natani omulanzi, eky'obulanzi bwa Akiya omulanzi w'e Silo, n'eky'okulabikirwa kwa Yiddo omulabi ku bifa ku Yerobowamu mutabani wa Nebati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mulembe gwa Sulemaani okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Nasani, ne mu kwolesebwa kwa Akiya Omusiiro, ne mu birooto eby’omulabi Iddo ebikwata ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa ebirala byonna ebya Sulemaani bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Nasani, ne mu byalangibwa Akiya Omusiiro ne mu kwolesebwa kwa Iddo omulabi era kwali kukwata ne ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebirala byonna Solomooni bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Byafaayo bya Natani Omulanzi, ne mu Byalangibwa Ahiya Omusiilo, ne mu By'Okulabikirwa kwa Yiddo Omulanzi, ebifa ku Yerobowaamu, mutabani wa Nebaati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Sulemaani, ebyasooka n'ebyamalirwako, tebyawandiikibwa mu bigambo bya Nasani nnabbi ne mu ebyo bye yalagula Akiya Omusiiro ne mu kwolesebwa kwa Iddo omulabi okwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati?