2 Chronicles 9:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
emmere ey'oku mmeeza ye, entuula y'abakungu be, entereera y'abasumaami be n'ebyambalo byabwe, abasenero n'ebyambalo byabwe, n'ebitambiro ebyokye bye yaweerezanga mu Kiggwa ky'Omukama, n'awuniikirira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’emmere eyaliibwanga ku mmeeza ye, n’okutuula okw’abakungu be, n’abaweereza be mu byambalo byabwe, n’enyambuka gye yayambukangamu okugenda okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama, n’aggwaamu omwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n'entuula y'abakungu be, n'empeereza y'abaweereza be, n'ennyambala yaabwe, n'abasenero be n'ebyambalo byabwe; n'olutindo lwe yalinnyangako okugenda mu nnyumba ya Mukama; kale ne yeewuunya nnyo, n'awuniikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n'entuula y'abakungu be, n'empeereza y'abaweereza be, n'ennyambala yaabwe, n'abasenero be n'ebyambalo byabwe, n'ebiweebwayo ebyokebwa bye yawangayo mu Ssinzizo, ne yeewuunya nnyo, n'awuniikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'emmere ey'oku mmeeza ye n'okutuula kw'abaddu be n'okuweereza kw'abaweereza be n'ebyambalo byabwe; n'abasenero be n'ebyambalo byabwe; n'olutindo lwe lwe yalinnyirangako okugenda mu nnnyumba ya Mukama; kale nga temukyasigadde mwoyo mu ye.