2 Chronicles 9:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Saasooka kukkiriza okutuusa nze kennyini lwe nzize ne neerabirako n'amaaso gange. Mazima ebyambuulirwa tebituuka na kyakubiri kya bwatiikirivu bw'amagezi go. Osuukkiridde ne kye nali mpulidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye nnali sibikkirizanga okutuusa bwe najja ne mbyelabirako n’amaaso gange. Laba saabuulirwa wadde ekitundu eky’ettutumo lyo; bye mpulidde bisingawo ku ebyo bye nnawulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange sakkiriza bigambo byabwe okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako n'amaaso gange. Byenawulira tebyenkana wadde ekimu eky'okubiri eky'amagezi go, osinga ettutumo lye nnawulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye saabikkiriza, okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako n'agange. Era ddala bye nawulira, tebyenkana wadde ekimu ekyokubiri eky'amagezi g'olina. Ettutumu ly'olina, lisinga lye nawulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye sakkiriza bigambo byabwe okutuusa lwe nnajja amaaso gange ne gakiraba: era, laba, saabuulirwa kitundu kya bukulu bw'amagezi go: osinga ettutumo lye nnawulira.