2 Chronicles 9:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bo nga beesiimye! Abaweereza bo abakuli awo mu maaso bulijjo nga bawulira amagezi go nga beesiimye!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bo nga balina omukisa! Abaddu bo abakuweereza bulijjo ne bawulira amagezi go nga balina omukisa!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja bo nga balina omukisa, abaddu bo bano nga beesiimye, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira eby'amagezi by'oyogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja bo nga balina omukisa! Abaweereza bo bano nga beesiimye, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira eby'amagezi by'oyogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja bo balina omukisa, abaddu bo bano balina omukisa, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira amagezi go.