2 Chronicles 9:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wo agulumizibwe oyo eyakusiima n'akuteeka ku nnamulondo obeere kabaka ofuge mu linnya ly'Omukama Katonda wo. Kubanga Katonda yayagala Yisirayeli emirembe gyonna, kyeyava akussaawo obeere kabaka, okole ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo yeebazibwe akwenyumiririzaamu, era eyakuteeka ku ntebe yo ey’obwakabaka. Olw’okwagala kwa Katonda wo eri Isirayiri, era n’okwagala okubanyweza emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okubafuga, okukola obwenkanya n’obutuukirivu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda wo atenderezebwe, eyakusiima naakuteeka ku ntebe okuba kabaka ofuge mu linnya lye, kubanga Katonda wo yayagala Isiraeri, abantu be, era ayagala okubakuuma babeerewo ennaku zonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe okuume amateeka n'amazima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wo atenderezebwe, eyalaga nga bw'akusiimye, ng'akufuula Kabaka, ofuge mu linnya lye. Kubanga Katonda wo ayagala abantu be Abayisirayeli, era ayagala okubakuuma babeerewo ennaku zonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe, oleetewo amazima n'obwenkanya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda wo yeebazibwe eyakusanyukira okukuteeka ku ntebe okuba kabaka olwa Mukama Katonda wo: kubanga Katonda wo yayagala Isiraeri okubanyweza emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe okukolanga eby'ensonga n'eby'obutuukirivu.