2 Chronicles 9:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'awa kabaka zaabu aweza talenta kikumi mu abiri, n'ebirungo bingi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo; tewabangawo birungo kwenkana ebyo nnaabakyala w'e Saba bye yawa kabaka Solomoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka awa kabaka ettani nnya n’ekitundu eza zaabu, n’ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n’amayinja ag’omuwendo. Waali tewabangawo bya kaloosa bingi bwe bityo nga Kabaka omukazi w’e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'atonera kabaka zaabu aweza talanta kikumi mu abiri (120), n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: era tewaabaawo bya kaloosa eby'enkanidde awo ng'ebyo kabaka omukazi ow'e Sebba bye yatonera kabaka Sulemaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'atonera kabaka zaabu aweza talanta kikumi mu abiri. N'amutonera n'ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Era waali tewabangawo byakaloosa ng'ebyo kabaka omukazi ow'e Seba bye yatonera Kabaka Solomooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'awa kabaka zaabu talanta kikumi mu abiri, n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: so tewaabaawo bya kaloosa ebyenkanidde awo ng'ebyo kabaka omukazi w'e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani.