2 Corinthians 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yatuwonya mu kabenje akenkanidde awo obubi, na kati akyatuwonya, era tusuubirira mu ye nti ajja kwongera okutuwonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
eyatuwonya mu kufa okwo okw’entiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi ery’okutuwonyanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda eyatuwonya mu kufa okunene okwenkana awo, era anaatuwonyanga; era oyo gwe tulinamu essuubi ery'okutuwonyanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda oyo ye yatuwonya mu kabi akanene bwe katyo ak'okufa, era ye alituwonya, era gwe tulinamu essuubi ery'okutuwonyanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyatuwonya mu kufa okunene okwenkana awo, era anaatuwonyanga: era gwe tusuubira edda alituwonya;