2 Corinthians 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nammwe nno mutujune nga mutusabira, bwe tutyo bangi batwebalizeeko olw'eneema etuweereddwa olw'essaala z'abangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tukolere wamu nga mutusabira, bangi balyoke batwebalizeeko olw’ekirabo kye twaweebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe mutuyambe mu kusaba, bwe batyo bangi beebaze Katonda ku lwaffe, olw'emikisa egituweereddwa olw'okusaba kw'abangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nammwe mutuyambe nga mutusabira, bangi balyoke beebaze Katonda ku lwaffe, olw'emikisa egituweereddwa olw'okusaba kw'abangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mmwe bwe mubeera awamu ku lwaffe mu kusaba; bwe tulimala okuweebwa ekirabo olw'abantu abangi, abangi balyoke beebaze ku lwaffe.