2 Corinthians 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitwewaanya kye kino, era n'emmeeme yaffe etujulira mu kino, nti tweyisa mu nsi, ate ne mu maaso gammwe, mu butuukirivu ne mu bwerufu obuva mu Katonda, si mu magezi ga nsi, wabula mu neema ya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tulina okwenyumiriza ng’omwoyo gwaffe gutujulira kubanga twatambulira mu buwombeefu ne mu mazima ga Katonda, so si mu magezi ag’omubiri, naye mu kisa kya Katonda nga tuli mu nsi n’okusingira ddala gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okwenyumiriza kwaffe kwe kuno, omwoyo gwaffe gutukakasa nti mu nsi muno, n'okusingira ddala mu mmwe, tubadde tweyisa mu butukuvu ne mu mazima ga Katonda, si mu magezi ag'omubiri wabula mu kisa kya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekituleetera okwenyumiriza kye kino nti emmeeme etukakasa nti mu nsi muno, n'okusingira ddala mu mmwe, tubadde ba mpisa nnungi, si lwa magezi ga bantu, naye kubanga ekisa kya Katonda kye kitufuula ab'amazima era abatuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okwenyumiriza kwaffe kwe kuno, okutegeeza okw'omwoyo gwaffe, nga mu butukuvu ne mu mazima ga Katonda, si mu magezi ag'omubiri wabula mu kisa kya Katonda, bwe twatambulanga mu nsi era okusinga ennyo eri mmwe.