2 Corinthians 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsuubira nga mujja kutegeera byonna, era nga bwe mwategeddeko edda ebimu, nti muyinza okutwenyumirizaamu, nga naffe bwe tuyinza okubenyumirizaamu ku lunaku lw'Omukama Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era nga bwe mwamanyako ekitundu nti muli kya kwenyumiriza gye tuli nga naffe bwe tuli eky’okwenyumiriza gye muli ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nga bwe mutegeeddeko ekitundu, musobola okwenyumiriza mu ffe, era nga naffe bwe tulyenyumiriza mu mmwe ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ekyo kaakano kye mutegeerako ekitundu, mulyoke mwenyumirize ku lwaffe, nga ffe bwe tulyenyumiriza ku lwammwe, ku lunaku lwa Mukama Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga n'okwatula bwe mwatwatulako akatono, nti ffe tuli kwenyumiriza kwammwe, era nga nammwe bwe muli gye tuli, ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.