2 Corinthians 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'obwesige obwo, nayagala nsookere ewammwe eyo, omukisa mufune gwa mirundi ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okwekakasa mu ekyo, nateekateeka okujja gye muli edda, mulyoke musanyuke omulundi ogwokubiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okubanga nali nnekakasa mu ekyo, n'ayagala nnyo okusooka okujja gye muli, mulyoke muweebwe omukisa gwa mirundi ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'okwekakasa mu ekyo, nayagala nsooke kukyalira mmwe, mulyoke mufune omukisa gwa mirundi ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu kusuubira kuno nnali njagala okujja gye muli edda, mulyoke muweebwe ekisa olw'okubiri;