2 Corinthians 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nali nkyabusabuusa kino we nakiteeseza? Bye nteesa mbiteesa ng'omuntu obuntu, ne ŋŋamba “Yee” ate nga nze omu agamba “Nedda”?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulowooza nga nateekateeka bwe ntyo olwokubanga nnekyusiza? Oba nti ntekateeka ebintu nga ngoberera omubiri, nga ŋŋamba nti weewaawo ye weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe nnali njagala okukola ekyo, nnalagaalaganya? Oba bye nteesa, mbiteesa ng'omuntu ow'omunsi, okugamba nti weewaawo, weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nayagala okukola ekyo, mulowooza nti nali munnanfuusi? Bye nkola mbikola ng'omuntu ow'ensi, agamba nti: “Weewaawo,” ate mu kaseera ke kamu n'agamba nti: “Nedda”?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe nnali njagala bwe ntyo, nnalagaalaganya? oba bye nteesa, mbiteesa kugoberera mubiri, nze okuba n'ebyo nti weewaawo, weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?