2 Corinthians 1:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda ow'amazima, ebigambo bye tubagamba tebibeeranga Yee oba Nedda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nga Katonda bw’ali omwesigwa ekigambo kyaffe gye muli tekiri weewaawo ate nti si weewaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nga Katonda bw'ali omwesigwa, ekigambo kyaffe gye muli tekiri nti weewaawo ate nti si weewaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga Katonda bw'ali omwesigwa, tetubagambangako nti: “Weewaawo,” ate ne tukyusa nti: “Nedda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nga Katonda bw'ali omwesigwa, ekigambo kyaffe ekiri eri mmwe si bwe kiti nti weewaawo ate nti si weewaawo.