2 Corinthians 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Omwana wa Katonda Yezu Kristu gwe twabayigiriza, Siluvano, Timotewo nange, teyali Yee oba Nedda. Mu ye bulijjo mulimu Yee.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana wa Katonda Yesu Kristo gwe twababuulira, nze ne Sirwano ne Timoseewo teyali nti weewaawo ne si weewaawo, wabula mu ye mwe muli weewaawo bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, ffe gwe twabuulira mu mmwe, nze ne Sirwano ne Timoseewo, teyali nti weewaawo ate nti si weewaawo, naye mu ye bulijjo mulimu weewaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu Kristo, Omwana wa Katonda eyabategeezebwa Siluvaano ne Timoteewo era nange, teyali nti: “Weewaawo,” ate nti “Nedda,” wabula mu ye bulijjo mulimu “Weewaawo,”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, ffe gwe twabuulira mu mmwe, nze ne Sirwano ne Timoseewo, teyali nti weewaawo ate nti si weewaawo, naye mu ye mwe muli weewaawo.