2 Corinthians 1:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda bye yasuubiza byonna mu ye mwe bisanga Yee; kyetuva twanukula nti: “Amiina,” nga tuyita mu ye, Katonda alyoke afune ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nga bwe biri ebisuubizo ebingi ebya Katonda, era mu ye kyetuva tugamba Amiina nga tuyita mu ye, Katonda atenderezebwe mu ffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu byonna byonna Katonda bye yasuubiza, mu oyo mwe muli weewaawo; era oyo kyava aleeta Amiina, Katonda atenderezebwe ku bwaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mu Kristo, byonna Katonda bye yasuubiza, mwe bituukiririra. Ku bwa Kristo, kyetuva tugamba nti: “Amiina,” nga tuwa Katonda ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu byonna byonna Katonda bye yasuubiza, mu oyo mwe muli weewaawo: era oyo kyava aleeta Amiina, Katonda atenderezebwe ku bwaffe.