2 Corinthians 1:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbalabidde Katonda ng'omujulirwa wange, ndayidde obulamu bwange: sajja Korinti lwa kwagala kubasaasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda oyo ye mujulirwa w’emmeeme yange, nga nabasabira ne sijja Kkolinso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze mpita Katonda okuba omujulirwa w'emmeeme yange, era kyennava nnema okujja mu Kkolinso, kubanga nnabasaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda ye mujulirwa wange nti olw'okubasaasira mmwe, kyennava sijja Korinto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze mpita Katonda okuba omujulirwa w'emmeeme yange, nga kyennava nnema okujja mu Kkolinso, kubanga nnabasaasira.