2 Corinthians 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo mu nnaku zaffe zonna atukubagiza, naffe ne tusobola okukubagiza abo bonna abali mu nnaku nga tweyamba okukubagizibwa ffe ffennyini kwe tukubagiziddwamu Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
atusanyusa mu buli kibonoobono kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okusanyusanga abali mu kubonaabona kwonna, n'okusanyusa ffe kwe tusanyusibwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye oyo atusanyusa mu buzibu bwaffe bwonna, naffe tulyoke tusobole okusanyusanga abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri, nga tubasanyusa n'ebyo ffe ffennyini bye tufunye okuva eri Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
atusanyusa mu buli kibonoobono kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okusanyusanga abali mu kubonaabona kwonna, n'okusanyusa ffe kwe tusanyusibwa Katonda.