2 Corinthians 1:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe tuba mu nnaku, tubeeramu lwa kukubagizibwa na kulokoka kwammwe; bwe tukubagizibwa, ekigendererwa nti nammwe mufune okukubagizibwa, nammwe bwe mugumira ennaku nga ffe ze tulaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe tubonaabona, tubonaabona olw'okusanyusibwa n'okulokoka kwammwe; era bwe tusanyusibwa, tusanyusibwa olw'okusanyusibwa kwammwe, okuleeta okugumiikiriza ebibonyoobonyo ebyo naffe bye tubonyaabonyezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe tubonyaabonyezebwa, tubonaabona, mmwe mulyoke mufune essanyu, era mulokolebwe. Era bwe tusanyuka, nammwe musanyuka, ne mufuna amaanyi okuyita mu bizibu ng'ebyaffe bye tuyitamu, nga muli bagumiikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe tubonaabona, tubonaabona olw'okusanyusibwa n'okulokoka kwammwe; era bwe tusanyusibwa, tusanyusibwa olw'okusanyusibwa kwammwe, okuleeta okugumiikiriza ebibonyoobonyo ebyo naffe bye tubonyaabonyezebwa: