2 Corinthians 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Essuubi lye tulina ku lwammwe linywevu; anti tumanyi nga bwe mubonaabona. Nga bwe mugabana ku nnaku zaffe, mugabanye ne kukubagizibwa kwaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Essuubi lyaffe lya maanyi gye muli, kubanga tumanyi nti nga bwe mugabana ku bibonyoobonyo byaffe, era bwe mutyo mugabana ne ku ssanyu lyaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tubalinamu nnyo essuubi, kubanga tumanyi nti nga bwe mubonaabonera awamu naffe, era muligabana ku ssanyu lyaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era okusuubira kwaffe kunywera eri mmwe; nga tumanyi nti nga bwe mussa ekimu mu bibonyoobonyo, era bwe mutyo musse ekimu ne mu kusanyusibwa.