2 Corinthians 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, tetwandyagadde mmwe butamanya ku nnaku ze twalaba mu Aziya; twazitoowererwa ekiyitiridde nga tetukyayinza na kuzigumira, n'obulamu ne tubuterebukamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde n’essuubi ery’okuba abalamu ne lituggwaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ab'oluganda, tetwagala mmwe obutategeera, okubonyaabonyezebwa okwatutuukako mu Asiya, bwe twazitoowererwa ennyo nnyini okusinga amaanyi gaffe, era n'okusuubira ne tutasuubira kuba balamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, twagala mumanye okubonyaabonyezebwa okwatutuukako nga tuli mu Asiya. Twabonyaabonyezebwa nnyo ekiyitiridde, n'essuubi ery'okuba abalamu ne lituggwaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda eby'okubonaabona kwaffe okwatubaako mu Asiya, bwe twazitoowererwa ennyo nnyini okusinga amaanyi gaffe, era n'okusuubira ne tutasuubira kuba balamu: