2 Corinthians 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima twawulira ng'abasaliddwa ogw'okufa, bwe tutyo tuleme kwesiga maanyi gaffe, naye twesige ye yekka azuukiza abafu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ffe lwaki twawulira nga abasaliddwa ogw'okufa; ekyo kyaliwo, tuleme kwesiga maanyi gaffe, wabula twesige Katonda azuukiza abafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twalowooleza ddala nti tusaliddwa gwa kufa. Ekyo kyatutuukako, tuleme kwesiga maanyi gaffe, wabula twesige Katonda yekka azuukiza abafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ffe bennyini twalimu okuddamu okw'okufa munda mu ffe, tuleme obwesige okubuteeka mu ffe fekka, wabula Katonda azuukiza abafu: