2 Corinthians 10:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze, Pawulo, nzennyini mbeegayiridde mu buteefu n'eggonjebwa ebya Kristu, nze omwetoowaze bw'emba nga tugasimbaganye, naye bwe mba ewala abagambisa amaanyi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano nze kennyini, Pawulo, mbeegayirira mu buwombeefu n’obukkakkamu bwa Kristo bwe mba nabwo nga neetoowazizza nga ndi nammwe, naye bwe mba nga siri nammwe ne mba muvumu gye muli;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze kennyini Pawulo mbeegayirira olw'obukkakkamu n'obuwombeefu bwa Kristo, nze omwetoowaze bwe mba nammwe, ate omuzira nga siri nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze nzennyini Pawulo, ayogerwako nti mba mutiitiizi nga ndi nammwe ne mba wa maanyi nga siri nammwe, mbeegayirira olw'obuwombeefu n'obukkakkamu bwa Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze kennyini Pawulo mbeegayirira olw'obukkakkamu n'obuwombeefu bwa Kristo, nze gwe mutoowaza bwe mba ssiriiwo mpitibwa muzira;