2 Corinthians 10:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffe tetuguma kwesimba ku abo wadde okwegeranya n'abo abeetenda. Naye bwe beefuula omu olugero lwa munne, ne beegeranya bokka na bokka, baba tebategeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffe tetwaŋŋanga kwebalira wadde okwegeraageranya n’abamu ku abo abeetendereza, naye bo bwe beepimamu bokka na bokka, ne beegeraageranya bokka na bokka tebaba na kutegeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tetwaŋŋaanga kwebalira ku muwendo gw'abo abeetendereza bokka newakubadde okwegeraageranya nabo: naye bo bokka nga beegeza bokka na bokka, era nga beegeraageranya bokka na bokka, tebalina kutegeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffe tetwagala kwebalira mu abo abeetendereza, wadde okwegeraageranya nabo. Bwe beegeraageranya, beegeraageranya ku bo bennyini. Tebalina magezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tetwaŋŋanga kwerowooza nga tuli ku muwendo gw'abalala ku bo abeetendereza bokka newakubadde okwegeraageranya nabo: naye bo bokka nga beegeza bokka na bokka, era nga beegeraageranya bokka na bokka, tebalina magezi.