2 Corinthians 10:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffe tetujja kwetenda kusukkiriza, wabula tujja kwekuumira mu lugero Katonda lwe yatuwa, nti tusobodde mmwe okubatuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ffe tetujja kwenyumiriza kusukka ku kigera kyaffe, naye tujja kwenyumiriza ng’ekigera ekyo ekyatuweebwa Katonda bwe kiri, ne tusobola n’okubatuukako mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naffe ffe tetulyenyumiriza okusinga ekigera kyaffe, wabula mu kigera eky'ensalo Katonda gye yatugabira okuba ekigera, era n'okutuuka ne gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ffe tetujja kwenyumiriza nga tetuliiko kkomo. Tujja kukoma ku mirimu Katonda gye yatugerera, nga mw'otwalidde n'ogwo gwe twakola mu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naffe ffe tetulyenyumiriza okusinga ekigera kyaffe, wabula mu kigera eky'ensalo Katonda gye yatugabira okuba ekigera, era n'okutuuka ne gye muli: